BEWARE THE TITHE TRAP
translated into the Luganda language
EBISOOKERWAKO
Okufaananako n'ebinkumu
byaffe okubeera eby'enjawulo, bwe kityo n'endowooza zabantu
ziba tezifaanagana. Obutefaanagana buno bwe butufuula ki
kyetuli.
Mukama singa akuwa obusobozi okuvumbula
eddagala eriwonya ekirwadde ekizibu ennyo, bwandibadde
buvunnanyizibwa bwo okubuulira ku banno ekyama kino?
Wandigabanye ne banno ku magezi go gona? Nandirowoozezza nti
kya nsonga okubabuulira okusobola okumalawo okubonaabona!
Bwovumbula obutali bwenkanya nga bukolebwa ndowooza
kyandibadde kirungi okubwanika. Musa yakiraba nga kigwanidde,
Jefferson naye bwe yakola, Ghanda yamalirira okwatula, era ne
Joan owe Arc naye yakola atyo. Buli lwe tuzuula nga bantu
bannaffe banyunyuntibwa tulina obuvunanyizibwa okwoleka ensi
ebikyamu bino.
Naye waliwo enjawulo nnene wakati
w'okwogera eddagala erivumbuddwa mu kuwoonya endwadde,
n'okwanika obulimba obwasimbibwa mu mitima gyabantu nga
balowooza nti ge mazima. okwatula obulimba kyetaagisa embavu
kubanga amakanisa gano amanyuunyunsi tegeetagira ddala kulaba
muntu alinnya mu luwombo lwabwe. bwe kityo bwekyali mu kyasa
ky'ekikumi n'omwenda mu kusuubula abaddu, ne leero mu kyasa
ky'abiri mu kimu bwe kiri ku bannyunyuusi bano, era bwe kijja
okuba nga basajja bakulu bano abawoomerwa eby'ekkumi basomye
ekitabo kino, manyi bajja kulumba omuwandiisi nga bamuyita
amannya ganno nga mwe muli n'eryobuvvoozi.
Naye bambi
eyinza okuba nga eriyo ababuulizi era n'abasumba ababadde
balya n'okusaba ebitundu by'ekkumi mu butamanya, naye nkugamba
nti oluvannyuma lwobubaka buno okukutuukakao ojja kuba tolina
kyeweekwasa okujjako okusalirwa omusango. Ne mukama waffe
yakyogera lwatu nti. '' mulina omukisa bwe banaabakolanga buli
kigambo kibi olw'erinnya lyange, Musanyuke era mujaguze nnyo
kubanga empeera yammwe nnene mu Ggulu, kubanga bwe batyo bwe
baayigganya bannabbi abaasooka'' (Mat ayo 5:11-12)
Eby'okuyiga bino bibyo ggwe omukristayo ayagala okumanya butya
Bayibuli bweyigiriza ku bitundu by'ekkumi.
----------------------------------------
OKUWAYO EBY'EKKUMI: KYA BUSUUBUZI
Ebitundu
by’ekkumi mukutu gwa bya nfuna munene mu makanisa mangi ddala
emabegako katono mu bulabilizi bwa East Coast mu America.
Bafulumya ennyingiza yaabwe mu bitundu by’ekkumi eyo mwaka.
Mubulabirizi obuwerwmu bammemba 22,500, alipoota eraga nti mu
mwka gumu gwooka baafuna ensimbi mu za ddoola $18,000,000.00
okwo kwe kubalilira okwangu nti buli muntu abeera yawaayo
ddoola $ 800.00, ate nga totaddeko birabo bye bawaayo ku
bwabwe mu makanisa gaabwe ne ku bulabirizi.
Olw'okuba
nti nze kennyini ntuddeko mu nkiko z'obulabirizi obw'enjawulo
okumalira ddala emyaka kkumi n'etaano, mbakakasa nti bo kye
bayita okukula n'okugenda mu maaso kisinziira ku bya kkumi na
bantu. bameka ababegasseko, era nga bino ebibiri babitunulira
nkakaba nnyo era nga tewali abyemoolerako.
Ekirala
mpozzi kye basimbako essira bye bintu ebikalu nga ebizimbe
naddala eby'amakanisa. bateekawo n'ensawo ewola amakanisa
amanafu oba amakadde ensimbi okweddabulula. mu kkanisa eno gye
njogerako wadde nga abakkiriza mu kakanisa ako akawansi
bebasasula ensimbi ezigula byonna, kyokka ate obulabirizi
bwebubeera n'obuyinza ku byapa by'ettaka era n'ebizimbe byonna
nga namasomero mwogatwalidde wamu n'amalwaliro.
Mu
nkiiko zino zonna ze mbaddemu ez'obulabirizi sijjukirayo
muluundi gwonna kiteeso kyaleetebwa ku kukulabirira abakadde,
bannamwandu oba bamuleekwa, wadde abatalina we basula. wabula
omulamwa gwasimbibwa nga ku malwaliro naye ngensonga eri
emabega w'olutimbe eri nti abalwadde abajja mu ddwaliro
baleeta omusimbi mungi ekitali ku bamulekwa ne bannamwandu
kubanga bo balya buli nga tebalina ke baleeta mu ggwanika.
oyinza okumbuza nti ''lwaki tewabyogerako?'' njagala
okukukakasa nti mu kiseera ekyo nange nali sinnaba kumanya
mazimaga byawandiikibwa ku bitundu by'ekkumi. Naye oluvannyuma
lw'okuzuula amazima ga Bayibuli okuyita mu kusaba
n'okononyereza, mukama ampadde ekisa okutereeza ensobi zange
ezaasooka. Tusigale nga tuwagira omulugube gwamadiini
n'amakanisa oba bwetaavu bwa bantu?
Ekitabo kino
kikulaga ebintu bibiri: (1) Enjigiriza ya Bayibuli ku bitundu
by\ekkumi, omugaso gwabyo era n'enkozesa. (2) Ekkanisa yonna
ekozesa ebitundu by'ekkumi essanye okukusaba esaanye okukisaba
nga enkola y'okukunjaanya ensimbi so si ngenkola oba
enjigiriza ya Bayibuli.
Ekiseera ky'okukkiriza
kwomukristayo kirina kuba ku byawandiikibwa byokka so si
Paapa, Nabbi, Kabona, Kabaka, Lukiiko, aba mateeka gakanisa.
Si mpisa za nsi oba nkola za mwana wo muntu yenna. ''Bwe
batayogera ng'ekigambo kino bwe kiri; lwakubanga tebalina
musana. (Isaaya 8:20)
----------------------------------------
ESSULA
ESOOKA
OKUWAYO EBITUNDU BY'EKKUMI MU
NDAGAANO ENKADDE
Okusinziira ku byabalevi
27:32 eky'ekkumi kiba kitundu kimu ku kkumi ekyebyo omuntu
byabeera afunye. Mu kyabalevi 14:28 abaana ba Isiraeli
baagambibwa okuleeta eby'ekkumi ku byonna bye babeera bafunye.
Enkola y'ebitundu by'ekkumi eno yali yabeerawo dda nnyo
nga n'eggwanga lya Isiraeli terinna baawo, nga nkola
y'abakaafiiri era nga kyalowoozebwanga nti singa ba lubaale
baabanga tebaweereddwa mitemwa gyabwe olwo abantu emikisa
baabanga bakugifuuwa mu ngombe omwaka oguddako. (James Hasting
Dictionary of the Bible. 1005)
Eby'ekkumi
tebyasabibwanga lwa mikologya kusinza gyokka, naye era
n'abafuzi b'amawanga oba ensi baabisabanga okuva ku bantu
baabwe
OKUWAAYO EBY'EKKUMI LYALI TEEKA LYA
MIKOLO
Nga tuyiga ku ky'ekkumi kino tujja
kukizuula nti kitandika okulabikako mu Lub 14:17-24 nga
Ibulayimu awaayo ekitundu kyekkumi eri merekizeddeki kabona
era Kabaka we Saalemi. Tewaliiwo teeka mu kigambo kya katonda
eryali lilagira Ibulamu okuwaayo eky'ekkumi eri Merekizaddeki
ku munyago (laba era n'essula 3)
Eky'a mazima kiri nti eky'ekkumi
kyawandiikibwa mu mateeka ag'emikolo nga mwe muli ebiweebwayo
eby'okebwa, saddaaka, obweyamo, ebiwebwayo wamu n;okukomola
(Balevi 12) kyamateka 11,12,14 ne 26 era nga byonna byali bya
kukola mu nkola yekireevi ey'obwakabona. olw'okuba Ibulayimu
yawayo eky'ekkumi ngamateeka ga musa teganajja abamu balowooza
nti ye nsonga lwaki ekyekkumi kirina kubeera kya lubeerera.
Amakanisa agamu gayigiriza nti Ibulayimu ''Yasasula'' So
si nti ''yawa'' ekimu ekyekkumi ku munyago gw'olutalo eri
merekizaddeki mbu kubanga waaliwo etteeka ly'eky'ekkumi
eritaali mu buwaandiike. Naye wekkanye kino nti ekikolwa kya
Jjajjaffe tekirina kakwate na tteka lya kya kkumi eryajja
oluvannyuma mu Baleevi. Etteka ly'ekirevi lyo lyali liragira
omuntu okuwaayo ekyekkumi ku bibala bye ttaka na nsolo byokka
Balevi 27:30-31 ate nga gwo omunyago ogunyagiddwa mu lutalo
gwanjawulo ku bifuniddwa mu kulima. lyo etteeka lya Musa
lyalagira nga Bakabona okufuna (kimu kyakutano) ku ebyo
ebinyagiddwa mu ntalo so si (kimu kyakkumi). Nolwekyo etteeka
erikwata ku binyagiddwa mu ntalo teryalina kakwate na kuwaayo
kimu kyakkumi. mu ggwanga (Kubala 31:27-29) Na bwekityo ggwe
agamba nti Musa mu Lubereberye yali awandiika tteeka lya nsi
yonna ate alivaako nga wayise emyakka 400?
Okuwayo kwa
Ibulayimu kyali kirabo kya kyeyagalire era lwa kusiima teri
kyali kisukkako awo.
EKIRABO KYA YAKOBO ERI
MUKAMA
Obukakafu obulala obulaga nti
eky'ekkumi kwali kuwayo kwa kyeyagalire eri mukama nga etteeka
lya musa terinajja kye kisuubizo Yakobo kye yawa mukama mu
(Lube 28:20-22) onojjukira bulungi nti Yakobo ye yali agenda
okufuuka taata we bika 12 ebya Isiraeli ebyala bigenda
okuvaamu eggwanga lya Isiraeli. Yakobo yeyama mu maaso ga
Mukama nti bwana mukuma, era n'amugbirira n'eby'okwambala
n'eby'okunnywa, yali wa kuwa mukama ekimu eky'ekkumi ku bintu
bye. wetegereze, singa obweyamo bwa Yakobo obwakakwakkulizo.
Singa mukama yagabirira n'okukuuma era n'okukolera Yakobo olwo
ne yakobo yali wa kuleeta ekimu eky'ekkumi. Singa waali wo
etteka ku ky'ekkumi mu kiseera kino musajja mukulu Yakobo yali
wa kuleeta ekimu ekyekkumi. singa waali wo etteeka ku
ky'ekkumi mu kiseera kino musajja mukulu Yakobo teyandisoose
kusubiza Mukama. Bino byonna biraga nti tewaaliwo tteeka
liragira kuwayo kya kkumi ng'amateeka ga Musa ku Sinai
tegannaba kujja.
EBITUNDU BY'EKKUMI KYALI
KIYUNDU KU MATEEKA AG'EMIKOLO.
Eky'amazima
kiri nti eby'ekkumi kyali kituundu ku mateeka ga Musa
ag'emikolo (kyam 14:22-29, 26:12). Naye obulimba bwokulowooza
nti osanga waaliwo etteka ery'enkalakkalira mu biseera bya
Ibulayimu ne Yakobo, obulimba buno buzuuka omaze bulungi
okuyiga ku nkola y'okukola. Kubanga okukomola kuno kwaliwo
ddannyo nga ne Musa tannajja (Lub 17:10) era kuteekebwa mu
mateeka g'emikolo nga n'eby'ekkumi bwe byali (Kuv 12:44,48) ne
(Balev 12:3)
So no nga Paulo ayogera
lwatu mu Bak 2:16-17 nti okufa kwa kristo kwasanyawo enkola
z'amateeka zonna, era ne (Bab 9:8-11) nti n'okukomola kwonna
kwakoma. N'olwekyo wadde nga okukomola n'okuwa eby'ekkumi
byaliwo ng'amateeka tegannaba kujja, ekyo tekyabifuula bya
lubeerera.
EBIGENDERERWA N'ENKOZESA Y'EBITUNDU
BY'EKKUMI
Mu (kyam 14) tulagibwa emigaso,
ebigendererwa wamu n'enkozesa y'ekituundu ky'ekkumi. tunula
olabe mu nnyiriri 22-29.
Mu Lunnyiriiri 22-23 Isiraeli yalagibwa
okusooloza eby'ekkumi ku bibala by'ennimiro zaabwe, endiga era
ne ku nte.
Mu lunnyiiriri 23 era ekitundu ky'ekkumi
kiragirwa kukozesebwa mu kujaguza, okw'ebaza mukama abawadde
omukisa omwaka oguyise era n'ekyo n'akibalagira so si buli
wantu. Muno nga mwemuli omwenge, amafuta era n'ensolo.
Mu nnyiriri 24-26 ekifo ekyalagirwa okuwerwayo ekituundu
ky'ekkumi bwe kyabanga ewala ennyo, Omuntu yalagibwanga
okukitunda olwo nno agende ne ssente mu kifo kiri, era
ng'olutuuka olagirwa okweguliramu kyonna omutima gwo
kyegwagala ne weesanyusa wamu n'ennyumba yo. Gamba ng'oyinza
okugulayo ku ebiyingula by'ennyama, endiga wamma gwe ne
wesanyukira
Emirundi emeka gyo'wulidde ng'abasumba bo
bakusomera ennyiriri ezo nga bakukanda okuleta ebitundi
by'ekkumi? Amazima tebasobola kuzisoma kubanga bakimanyi nti
olunaazisoma osobola okutandika okubabuuza ebibuuzo
n'ekiddirira kuyuza mu luwombo lwabwe wamu n'olugogo mwe
balembekera ensimbi mu bukyamu, nga beerimbise mu ''mbu''
mukama agambye....
Olunnyiriri 27 Abaleevi
abaawerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu oba yeekaalu
baalagirwa okuweebwangako ku bitundu by'ekkumi naye tebatuwa
muwendo ki, nti kubanga bo tebaafuna munyago oba busika ku
ttaka ne ku bibanja. Naye mu ndagaano empya Paulo annyonyola
bulungi ntienkola ya Musa ey'obwakabona bw'ekirevi yakoma ku
musaalaba era olwo kristo n'afuuka kabona waffe omukulu.
N'olwekyo oyo omusumba wo ey'erimbise mu nkola y'ekireevi
akikola mu bukyamu kubanga tetukyalina bakabona oba basumba
batutabaganya ne Katonda, ogwo omuli Kristo yagutwala era mu
(Mat 25) tujja kulaba enkola ya kristo gyayagala tuweemu era
wamu n;okumuweereza.
Mu lunyiriri 28 ku buli nkomerero
ya mwaka gwa Ssabbiti ogw'okusatu buli muntu mu Isiraeli
yalinanga okujjako ekitundu ky'ekkumi ku byonna byafunye era
n'akitereka mu ggwanika lye.
Mu lunyiriri 29 ate tulaba
ng'abaleevi baafuna ku kitundu ky'ekkumi, kyokka ate era
ekitundu ky'ekkumi kino kyaweebwanga abali mu bwetaavu nga
abatambuze, enfuuzi, bannamwandu, wamu nababundabunda-
olw'entalo.
Geraageranya enjigiriza ya Bayibuli eno
wamu n'eya Ellen G White ate ye eyawandiika nti ensonga enkulu
ey'ekitundu ky'ekkumi. Kuzimba masomero. Abalala ate bagamba
nti ababuulizi b'enjiri y'ebitabo nabo baweebwe eby'ekkumi.
naye bonna bakola ensobi emu okugayaalirira omulimu
gw'ekitundu ky'ekkumi omukulu, kwe kugamba abaweereza.
testimonies vol 9(pp 248-249)
Ellen White era agamba
nti ekitundu ky'ekkumi tekirina kuyamba banaku (counsels on
stewardship 103) lwaki mukyala White tawuliriza Bayibuli ku
magezi g'etuwa ku bituundu by'ekkumi nga okugamba bamulekwa,
abakadde, bannamwandu, bakateyamba n'abalala? Tujja kwongera
okusunsula ensonga eno mu Mat 25, mu maaso eyo.
ENJIGIRIZA Y'EKITUNDU KY'EKKUMI EKY'OKUBIRI
Waliwo abantu abayigiriza mbu Kubala 14 Eyogera ku kuwaayo
ekitundu ky'ekkumi eky'okubiri naye eno endowooza nnafu nnyo.
Okusookera ddala mu Bayibuli yonna tewali wasangibwa
lunnyiriri lwogera ku kitundu kya kkumi nti eky'okubiri eyo
enjigiriza kuba kupangirira kwa bantu nga bagezaako okuleeta
eby'ekkumi emabgga eri nga Musa tannaba kujja.
Mu
butuufu Kyamateeka 14 eyogera ku kitundu ky'ekkumi kya mulundi
gumu, era amadiini gano agayigiriza nti waliwo eky'okubiri ate
ku mabaasa gaabwe bateekako kyakkumi kimu kyokka wama na
kirabo buli asomesa nti waliwo eky'ekkumi eky'okubiri ekyo
abeera akiggye mu magezi ge ku bubwe.
EKKANISA
YO KIKI KY'ESINGA OKWETTANIRA?
Mu bwangu ddala
ka twetegereze engeri ekkanisa yo gyejjumbiramu okulabirira
bamulekwa, abakadde, bannamwandu, abalema, ababundabunda, wamu
n'enfunzi. Pulojekiti z'ekkanisa meka ezirabirira bannamwandu,
era amaka ga bamulekwa gali ameka mu kitundu ky'ewammwe nga ga
kkanisa? ye abaffe amaka gabakadde wamu ne bakateeyamba nga ga
kkanisa yo gali amake? eky'okuddamu kyo bwe kiba kibadde nti
''tewali'' olwo tubuuza nti lwaki tewali nkola bwetyo?
Tujja kwebuuza era nti makanisa ameka agali mu kitundu
kyammwe? mmanyi ozzemu nti mangi nnyo, kati twebuuza muno
makanisa ameka agalina abaweereza abasasulwa emisala? oba oli
awo 99.9% ku basumba abakadde ne ba bishops basasulwa.
Kiyinzika okuba nga kya mazima ekkanisa nnyingi tezirinaayo
wadde, kapulojekiti n'akamu aka labirira abakadde, enfuuzi, ne
bakateeyamba lwa kuba nga omusimbi omunngi guggwera mu kuzimba
bitebe bya makanisa gano, kusasula basumba misaala misava,
amayumba agatemya ng'abantu wamu ne zikapyata ez'ebbeyi. Kino
nno kitalo.
Buli Isiraeli lwe yagobereranga empa
n'enkozeesa y'ekitundu ky'ekkumi mu Kyamateka 14. Okukozesa
eky'ekkumi nga bagulumiza katonda, okuwa abaleevi n'abantu
abala abeetaaga obuyambi, omulimu, oba omuntu yafunanga
omukisa gwa mukama, Na bwe kityo bwe kuba nti amakanisa ga
leero gakyakiririza mu by'ekkumi lwaki tegagoberera nkola ya
Bayibuli? Tewali lukusa luweebwa muntu yenna kulondako ekyo
ekimusanyusa n'alekayo ebitamusanyusa.
Ekkanisa yo kiki
kyetwala ng'ekikulu, tweyongere okuwagira omulugube gwama
diini oba tuweereze bantu abalina obwetaavu?
ENJIGIRIZA YA MALAKI KU KITUNDU KYEKKUMI
Nga
tetunnaviira ddala ku nkola ya bitundu bya kkumi mu ndagaano
enkadde, ka tusooke twe tegereze Malaki kubanga mu Malaki
amakanisa agasinga mwe gasimbula enjigiriza zaago ku buwanika
bw'ekikulisitaayo.
Tewali kubuusabuusa owulirizza ababuulizi bangi nga
bayigiriza nti buli lwotasasula kitundu kya kkumi obeera
onyaga katonda. Naye ka twetegereze ddala kiki Nabbi kye yali
ayigiriza.
Mu ssula esooka etandika katonda akakasa
Isiraeli nga bwabagala. Mu lunyiriri Malaki 1: 6-8 Mukama
agamba nti ''mwe bakabona mmwe mwonoona erinya lyange''
bakabona beebuuza nti twalyonoona tutya? Mukama abaddamu nti
''Muleeta ebiweebwayo ebikyamu ku woolutaali yange'' nga
muleeta ensolo enzibe z'amaaso, ennema, era endwadde, mu lunny
9
Kino akiddamu mu lunny 13 mukama alabula nti tajja
kwaniriza Saddaka zino ennema, ezimenyese wamu n'endwadde. era
mu lunny 14 mukama alabula nti ajja kuzigaana era tazaagalira
ddala.
Mu ssula 2 mukama addamu okwolekera bakabona
ng'abagamba nga bwe basomesezza eggwanga lyonna okukola
ebikyamu. ebikyamu bino ne bakabona bya bazingiramu kubanga
baalemwa okumatiza abantu omugaso gw'okubeera ab'amazima mu
mbuga z'amateeka, wamu n'obulungi bw'okuwaayo eby'ekkumi
ebitaliiko bulema eri mukama olunny 7-9
Mu ssuula 3
mukama alaga lwatu ekimunyiiza obuzibu buva wa? Bakabona nate
era baali bagenda mu maaso n'okweroboza essadda ennungi era
ensava mukama ne bamulekera ennema, enzibe z'amaaso wamu n'ezo
endwadde. Mukama anenya bakabona era mu ssuula 3:5 agamba
''nti ajja kulwana n'abo abanyaga bannamwandu ne bamulekwa,
era nti ajja kulwanyisa abo abanyaba abatambuze ne
bannaggwanya eno y'ensonga y'emu ey'ekitundu ky'ekkumi
eyogerwako mu mateeka 14
N'olwekyo obuzibu buli ku
bakabona abaluvu abalya ku mukama saddaka ensava ate era ne
balyazaamaanya n'abanaku abandibadde bafuna omungago gwabwe ku
bitundu by'ekkumi.
Mu suula 3:8 ''omuntu alinyaga
Katonda?'' bakabona baagala okumanya baanyaga batya mukama era
katonda abaanukula nti mwannyagako ebitundu by'ekkumi
n'ebiweebwayo.
Ensonga y'okunyiiga kwa mukama eri nti
baamunnyagako saddaaka ennungi, bakabona babbi, olunyiriri 9
lugamba nti tebabbye katonda yekka naye ate babbye n'eggwanga
lyonna, ne baleetera katonda okuyimiriza emikisa gye eri
abantu. olw'okuba abantu baalabira ku bakabona baabwe nga
beesigaliza saddaaka ennungi nabo batandika okukola ekintu kye
kimu ne batandika okuleetera mukama busaddaka obulema era
obukyamu.
Wano tukiraba nti katonda tayogera
kubutaweera ddala kitundu kya kkumi na biwebwayo naye ayogera
ku abo abeggweera saddaka ne batwalira mu n;eza mukama wamu
ne'byo ebyandiweereddwa ba kateeyamba.
Naye twebuuza
katonda bino yali abigamba baani? yali abigamba bakabona n'abo
bonna abezibikanga saddaaka ennungi n'ebyekkumi, Katonda wamu
n'abanaku ne bakwata mu lya mpiki.
Nkuwa ga buwa okuva
kati buli lwolaba omusumba wo ng'asoma mal 3:8 n'atandika
okukusongamu ennwe, jjukira nnyo omulamwa gwa Malaki nti ye
yennyini omusumba y'agwanidde okuteekebwa ku mulumyo
Buli mukulembeze yenna bwagezaako okuvulunga ekigambo kya
mukama olw'amagoba ge ng'omuntu mukama yetegese
okumugolokokerako. (Mal 2:8)
----------------------------------------
ESSULA
2
ENJIGIRIZA Y'ENDAGAANO EMPYA KU BUTUNDU BY'EKKUMI
Matayo akoona ku kitundu ky'ekkumi mu Matayo 23:23 Yesu
bwajja anenya nnyo abayudaaya olw'okubeeranga abeegendereza
ennyo mu kuwaayo ebitundu by'ekkumi ne ku buddo obutono ennyo
nga aruta ne kumino naye ne beerabira ensonga enkulu nga
obutalyazaamanyanga, okukkiriza wamu n'ekisa eri bannaabwe.
Abafalisaayo Yesu baayogereramu wano baali bakyafugibwa
amateeka gali ag'emikolo kubanga kristo yali tannaba
kuwanikibwa galyoke gakomezebwe. era tewaliiwo lunyiriri
lwonna mu bayibuli lulaga nti Kristo oba abayigirizabe
baasabako ku bantu ekitundu ky'ekkumi
So nno ng'ate mu
ndagaano empya tulaba nnyo Kristo ne basajja be nga beenyigira
nnyo mu kuyamba abazibe, abayaga, abalwaddw, n'abali mu
bwetaavu.
Ye abaffe twebuuza yesu yabeeranga atya? kimu
kyokka kyetumanyi nti yali mubazzi naye tetumulaba bwabajja
eno mu bukulu naye kyetulinako bwino kye kyokuba nti
yayimirirangawo lwa nsimbi ezaaletebwanga mikwano gye wamu
n'ebirabo ebirala (Lukka 8:3)
Mu Matayo 10 ne Lukka 10
Yesu atongoza okukkiriza obuwagizi n'obugabirizi obuva mu
mikwano bwatuma basajja be n'abagamba nti batwale ngoye zzabwe
zokka ze bambadde nga bwakkatiriza nti omukozi w'omulimu
agwanira okuweebwa ebyo bye yeetaaga, mu (Yok 4:35-36) Kristo
aggumiza nti empeera y'okumuweereza kwe kuleta emyoyo nga
gikkiriza enjiri ey'obulokozi.
Ebirabo ebiweebwa nga
kyeyagalire byawukanira ddala ku mitemwa egisalibwa mbu gya
bitundu bya kkumi. kyandibadde kya magezi omusumba okuyamba
ekisibo nti oba eriyo eyeetegese okunyamba mu mulimu gw'enjiri
awagire, era ne bwe watabaawo yeetegese mu ssaawa eyo omusumba
abeera n'okukkiriza nti mukama ajja kugabirira.
Ekyokulabirako ekirunngi ekirunngi kye ky'olugero lwa yesu
olw'omusamaliya omulungi. Yesu yagamba abaali bamuwuliriza nti
nammwe mugende mukole bwe mutyo. Okuyamba omuntu yenna ali mu
buzibu oba mubwetaavu kyokka nga tomusuubirmu mpeera.
Enkola eno eteri ya kitume ey'okupangisanga oba okuwa abasumba
emisaala, esimbulwa mu ekereziya enkatolika, kubanga abo be
baatandiikiriza omuze gw'okuteekawo omutabaganya wakati wa
katonda n'omuntu era nga ono alina kubeera kabona so si
kristo. ekyo no kikyamu kubanga ye Paulo ayigiiriza lwatu nti
tetukyalina mutabaganya mulala okujjako Kristo yekka (1Tim
2:5)
Ekyomukisa omulungi abazza ekknisa obuggya aba
polotesitante bwe baayabulira ekereziya, ne bagaana
okweyambisa abantu mbu be batabaganya b'omuntu ne katonda,
naye ebyembi baalemwa okujjawo ekyokusasulanga abaweereza
emisaala. Tewaliiwo bujulizi bwonna butulaga nti mukama waffe
yesu oba abayigirizabe bawebwanga ensako n'emisaala era bonna
abakikola babengudde ku byawandiikibwa ebitukuvu.
EBITUNDU BY'EKKUMI N'OKUWAGIRA ABAWEEREZA NGA YESU
AMAZE OKUFA
Kati tugenda kulaba oba ddala
ebitundu by'ekkumi bitulagirwa okuva oluvannyuma lwa saddaka
ya Kristo. Kristo bwe yafa eggigi lya yeekaalu lyayulika
wakati era kino nga kitegeeza nti amateeka gonna agemikolo
gakomezeddwa. Paulo akkatiriza bulungi ku nsonga eno nti
amateeka nga okulya ennyama, eby'okunnywa, ebiweebwayo, ennaku
entukuvu ne zi Sabbiiti byonna byamalibwamu amaanyi, Yesu nga
amaze okutuweerayo saddaaka eyekitibwa(Bak 2:16-17) (Beb
9:8-11)
Olw'okuba nti eby'ekkumi lyali limu ku mateeka ag'emikolo
era nga lye limu ku ago agaasangulwawo ne saddaka ya Kristo
kati ekituweesa ebituundu by'ekkumi ddala kiki?
Eby'ekkumi, okukomola, Sabbiti ez'emikolo, okunaaba
okwenjawulo, wamu ne Saddaka byonna byakomererwa ku musaalaba
era ne biggibwawo (Bag 5:15, ne 1bakol 7:19)
Ol'wkuba
nga omutume Paulo ye muntu yekka addirira Kristo mu ttutumu mu
ndagaano empya, ate era nti yali mukkiriza mukuukuntivu owa
Kristo kiba kya nsonga okutwala eky'okulabirako kye ffenna nga
abakulistaayo.
Obukakafu bwa Bayibuli butulaga nti
Paulo teyasaba ku bitundu bya kkumi. Kubanga yeewaana
n'okwewaanira ku Bakkolinso nti yafuula enjiri ya Kristo
okubeera ey'obwereere (1bako 9:18) so nno ng'ate yalina
eddembe okubasaba empeera olw'okuweereza kwe (okwo olunny 13)
mu lunnyiriri 15 Paulo atugamba nti obuyinza bw'okusaba
abakkiriza ensimbi teyabukozesa. Ababuulizi n'abasumba bo
bangi mmanyi tebasukka lunnyiriri olwa 1Bakol 9:14. bwe
babaayo be batono ddala. Paulo amaliriza atutegeeza nti ye
essanyu lye riri mu kuweereza balala olwekyeyagalire mu linnya
lya yesu mu lunnyiriri 18 era ayongerako nti teyeetaaga
kuwaanibwa oba kusiimibwa olwokubulira enjiri kubanga ekyo
kyateekeddwa okukola nh'omwana omugonvu.
Waliwo
ebigambo bya Paulo abantu bye batera okukwata obubi era ne
babitabula, so no nga Paulo asigala tekubaganye na bigambo bye
ka bikwatagane n'okuwayo mu kkanisa. Bwetusoma mu 1kol Paulo
atugamba nti tasobola kukkiriza kuweebwa musaala
olw'okuweereza kwe mu kkanisa... Bwaba annyikiza ku nsonga eno
mu 2kol 11 atulaga nti ''Nnanyaga ekkanisa endala nga
nzikiriza ebirabo byabwe olwokubaweereza'' (New oxford
annotated Bible)
Mululimi olu Gereeki(Greek)
olwakozesebwanga mu biseera ebyo, ekigambo ekikozesebwa mu
lunnyiriri luno abamu kye bavvuunula ''ng'omusala'' kitegeeza
bitole bya mmere. (Opsonion) nga kiva mu kigambo (Optos) nga
kikwatagana na bintu bifumbiddwa, n'olwekyo bwagamba nti
yanyaga ekkanisa... ku lwabwe, yali ategeeza nti yaweebwa
emmere abantu mikwano gye so ssi musala gwa bitundu bya kkumi.
Ekitufu kye kino nti Paulo yawebwako ku buyambi okuva mu
mikwano gye asobole okutuuka mu bituundu ebirara naye nga guno
tegwali musaala omugereke, kyava ayogera nti yafuula enjiri ya
Kristo okubeera ey'obweereere, n'olwekyo teyeekuba ndobo wantu
wonna. Kubanga ekyokuweebwa ebirabo mu kyeyagalire ekyo ne
Kristo kye yakozesanga mu Lukka 8.
Wadde nga Paulo
yakkiriza nga ebirabo bino oluusi okuva mu mikwano gye, naye
tumulaba nga yali musajja mukozi nnyo mu kuluka zi weema era
nga yali musajja mukozi nnyo mu kuluka zi weema era omwo mwe
yaggya nga ekigulila magala eddiba(Bak 1:31). Gwe omusumba wo
wasemba ddi okumulaba ng'akola n'emikono gye okusobola okufuna
ku nsimbi? Mu (2bases 3:6-13) Paulo atugamba nti yakolanga
emisana n'ekiro era teyalya mmere ya muntu yenna ya bw'ereere,
kyova olaba nga mu 1Kol 11:1 atusaba okumugoberera nga naye
bwagoberera Kristo.
Enkola ya Paulo yali ya bwannakyewa
era ng'omwo mwafuna essanyu ly'obulokozi. Omuntu yenna
okulowooza nti ate mu bwanakyewa buno Paulo yali asaba misaala
mu bitundu by'ekkumi kiba kiraga nti omukulembeze oyo
mukendeevu mu kumanya era n'obulimba mulimba nga Jjembe
YE CONSTANTINO OMULUUMI AGAMBA ATYA?
Enkola y'okusaba ebituundu by'ekkumi abatume tebaagirina,
naye ate byajja bitya okutandiika okukozesebwa mu makanisa
agasinga obungi? Okumalira ddala emyaka 300 nga Yesu amaze
okufa abasumba n'ababuulizi b'enjiri baalinga bannakyewa.
kyokka Constantino empura omuluumi eyawandiika etteka lya
Sunday eryasooka mu 321AD ye muntu y'omu era eyatandiikiriza
okusasula nga bannaddini mu makanisa. mu bukulembeze bwe
abasumba yatandika okubasasula ku nsimbi za gavument oba mu
mawanika g'enkiiko z'ebibuga (municipal councils)
Omuntu ono y'omu eyaleeta okufuula sunday ng'olunaku
olutukuvu, oluvannyuma n'ekeleziya katolika wamu
n'abapolotestante ne bakibuukira. Constantino ono era ye
yatandika enkola y'okuzimba amakanisa amanene ag'ebbeyi
kwokomya amaaso mu Yerusaalemi, Beserekemu, Constentino ne mu
bifo ebirala. Mu kiseera kye kimu n'asalawo okutandika
okusasula abasumba emisaala emisava n'ebafuula abatunzi
b'enjiri ya Kristo, ekyo nno kitalo!! Bwatyo constenino
n'afuula obusumba okubeera omulimu, nga tebawa musolo,
tebawandiikibwa mu magye, nga yeerabidde nti mu biseera bya
Paulo omuweereza yeekoleereranga(2Tim 2:3)
Gye
byasembera kyazuulibwa ng'okusobola okubeezaawo abasumba
n'okwejalabya kwabwe walina okussibwawo omusolo ku bantu era
nga kye ky'ekkumi ne yerabira nti kino kyali kyakomererwa dda
ku musaalaba era ne kikoma.
Enkola zino zonna
constantino zeyatandika ng'asaaga omuli okufuula sunday
olunaku olutukuvu, okusasula abasumba emisaala, wamu n;okuwa
ebitundu bye'ekkumi byagenda bisimba amakanda era ne
bikoppebwa ekereziya mu (Constantine and Christianity in
ancient European and Church History )
TEWEERABIRA BINO
Jjukira nnyo kino nti
oluvannyuma lw'omusaalaba tewali lunyiriri lulaga Paulo oba
abatume abalala nti basaba oba bawa ebitundu by'ekkumi. Mu
1pet 5:2 ye Petero agamba nti aweereza Kristo mu kwagala naye
si lwa magoba... Paulo akkiriziganya ne Kristo nti omuweereza
w'enjiri aweebwenga ebirabo era mu Bik 18 Paulo bwe yali ne
Akula wamu ne Pulisika baali beekolera weema nga mwe bajja
ejjamba.
Teri bukakafu bulaga nti
Paulo yasomesa oba yalagira abawereza okuweebwanga emisaala,
wamu n'ensako mbu olw'okuba basomesa Bayibuli era ye Paulo
ayogera kaati ng'omusezi agula essowaani nti ye ne mikwano gye
tebatunda oba tebasuubuza njiri (2kol 2:17) Bannaffe
tunaagenda mu maaso n'okuyimirizaawo omulugube gwa bannaddiini
oba tuweereze bantu abali mu bwetaavu?
----------------------------------------
ESSUULA 3
OKUWAAYO ERI KABONA WO ASINGA OBUKULU
Tumaze okukiraba nti enkola yonna ey'amateeka g'emikolo
ey'endagaano enkadde yakomeezebwa olwa saddaaka ya Yesu. Era
nga mu byakomezebwa mwe muli bakabona, saddaaka, okunaaba
okwemikolo ne zissabbiiti z'emyaka, okukomola, eby'ekkumi
n'amateeka amalala lutotto.
Olw'okufuuka saddaka ku lwaffe, Kristo
ow'omukika kya Yuda yafuuka kabona waffe asinga obukulu. Mu
Beb 7 Paulo atulaga nti bakabona baafuuga erane basikirwa
bannaabwe ng'enkola ya Merekizeddeki bweri olunyiriri 2 nti
era oyo jjajjaffe Ibulayimu gwe yawa ekitundu ky'ekkumi era
nti oyo kyali isiikirize kya Kristo Masiya kabaka ataggwawo.
Paulo ayongera okutulaga nga mu mateeka bakabona bwe
baalagirwa okuweebwanga aomunyago ku bitundu by'ekkumi kyokka
ebyembi amateeka gano ne gajja gasangulwawo omusaayi gwa
saddaaka ya Yesu. Kati ababiwa babiwa ani nga bakabona
baggibwawo era nga n'etteeka mwe baabiweerwanga lyasangulwawo?
weegendeereze akatego!!
Kati kabona waffe asinga
obukulu tumuwa tutya? Tumuwa nsimbi zaffe ku bulabirizi mu
misaala gy'abakozi: Tuziwa oyo gwe twagala ennyo mu baweereza
ku terefaayina(T.V)? Oba ku leediyo: bannaffe tumuwa tutya?
Amazima gali nti Kristo mwanjulukufu nnyo kunsonga z'okumuwa
oba okumuddiza mu (Mat 25:34-46) atugamba nti bwalikomawo
alyawulamu endiga ku mbuzi, abajeemu mu batuukirivu, era
aziyingize mu bwakabaka.
Kristo annyonnyola ensonga
kwaliva okukkiriza abatukuvu era abannunule ''Nali muyala,
mwampa eky'okulya nalina ennyonta, mwampa ekyo'kunywa, nali
mutambuze nga sirina w'ensula, ne mujja mu nsaze, nali
bwereere ne munnyambaza bwe nali mu kkomera mwajja ne
mundaba''
Kati abatukuvu balimubuuza nti ''twakulaba
ddi ng'ebintu bino byonna bikuliko ne tukuyamba?'' alibaddamu
nti ''buli kye mwakolera baganda bange bano abaali obubi era
mu bwetaavu mwakikolera nze'' Abantu bano abalina obwetaavu be
baganda ba Yesu kale twanguwe tugende tubayambe.
Bannange; tetusindika nsimbi zaffe ku bulabirizi mu bantu
abatali na Baleevi ne batandika okuvuga zi benzi, okukola
embaga, n'amayumba kwokomya amaaso, olwo ne tulowooza mbu
tuziwadde Katonda, ekyo tekiriiyo!! Jjukira kino nti okuwaayo
obuyambi eri bakateyamba tekitegeeza nti olina kuwaayo erii
Katonda okusinga bweyandiwadde mu nkola y'ekireevi.
On'ojjukira wama nti mu biseera bya musa ekkanisa era
yeyakolanga nga gavumenti na bwe kityo buli abantu lwe
baawangayo mu kkanisa era baabanga bawaddeyo eri gavumant.
Naye leero ebintu bino byombi byadda wa.
Olw'aleero mu
saddaaka ya Yesu, tumuddiza ku byaffe nga tuyamba abo bonna
abali mu bwetaavu. Ekkanisa yo kiki kyesinga okwettanira,
kuyamba bantu oba kugula ttaka na kuzimba bizimbe n'okusanyusa
abakulembeze abayigiriza nti okukula mu mwoyo kulabikira ku
bizimbe bya makanisa? So nno nga mukama waffe
tageraageranyangako kukula mu mwoyo na bizimbe ye kyayagala
kwe kuyamba abo bonna abeetaaga obuyambi bwaffe. webuuze nti
abange ekkanisa mwensabira ekola etya era nange nzennyini
nkola ntya okuddiza ku Katonda wange?
----------------------------------------
ESSUULLA IV
OBUTALI BWENKANYA MU NKOLA Z'AMAKANISA
Wadde ng'obujulizi bwonna buweereddwa okukakasa nti
ebintundu bye'ekkumi byasangulwawo waliwo amakanisa agamu
agakyalemeddeko nga gagamba nti wadde ng'amatekka g'emikolo
gaakoma ku musaalaba byo ebitundu by'ekkumi bikyaguga. Naye
wadde enjigiriza eyo nkyamu ka tusooke twefuule abagikkiriza
olwo nno tugikebere tuzuulire ddala mazima.
Oba
ebitundu by'ekkumi bino ebyali ekitundu ku mateeka ag'emikolo
bikyaliwo nga ate go gakoma kiki ekibalobera n'okukwata
amateeka gano amalala agalifaanana okugeza nga;
Bakabona abaleevi tebakirizibwanga kubeera na tteka oba
eby'obugagga ebirala. n'amakanisa gano nga gagaana abasumba
baago okubeera n'eby'obugagga?
Mu kyamateeka 14
kiragibwa lwatu nti ekitundu ku by'ekkumi kyalekebwanga eri
oyo akireese n'amaka ge, bannamwandu, bamulekwa,
ababundabunda, wamu nabakadde nabo baaweebwangako, naye wali
owuliddeko ku musumba wo ng'akugamba naawe osigazeeko ku
kitundu ky'ekkumi? Oba nti akatundu kaweebwe abali mu bwetaavu
ebyembi abasumba bayigiriza nti ne bwaba mwana wo ng'akanuka
togeza ne weyambisa ku nsimbi z'ekitundu ky'ekkumi. Kale
balina agatima!!
Twakirabye dda nti mu nnaku za Malaki
Bakabna baali beeroboza saddaaka ensava nebiweebwayo ebinene
''nalya'' obusammambiro, kiri kitya leeroba Bishops n'abasumba
tebali mu kwegabira gasaala na nsako bisava ngabanaku beekomba
binkumu nakweyaguza njo?
Si kya mazima okwekanya
abasumba ba leero ne ba kabona b'omunnaku za Musa. Kubanga
bakabona bali baasalanga zi saddaka era nga be bayimirirawo
okutabaganya omuntu ne katonda we. olwaleero ebyo byakyuka
omutabaganya waffe ne katonda yakikola omulundi gumu ne kiggwa
ye Kristo Yesu mukama waffe, kati bye boogerako babiggya wa?
Bakabona bonna baavanga mu kika kya Levi, mpozzi
n'omusumba wo wa mukika kya Levi? oba nga tali ebintu
abyesonyiwe era asirike oba si ekyo wakiri anuune ku vvu.
Kubala 3 bwagamba.
Ekkanisa ziyigiriza nti buli nsimbi
yonna efuniddwa erina okuggibwako eky'ekkumi, kyokka ye balev
27 Musa agamba nti ensigo zensi wamu n'ebibala okwo kwe
munaggyanga eby'ekkumi mpozzi ne ku magana. Kati olwo ffe
abavubi tukole tutya, ye abasazi b'embaawo, abakozi b'awaka
n'abalusi wama n'abaweesi bo bawa kyaki ng'ate tebaliimu mu
ntekateeka ya Katonda?
Abebbulaniya baalagirwa okuleeta
eby'ekkumi byabwe mu mmere (Mal 3) so si nsimbi, era obanga
waliwo eyayinzanga okuleeta ensimbi yawaliribwanga okwongerako
ebituundu ebirala 20 oba 20% mpozzi n'ekkanisa yo ebasaba
kuleeta mmere oba ssente mu kitundu ky'ekkumi? (Balev 27:30)
Amakanisa tumaze okukiraba nti tegakkiriza bantu baabwe
kukwata teeka lyonna mu bujjuvu bwalyo wabula balondamu
obutundu obunnabasobozesa okwefunira ku nsimbi wamu
n'okweyagala. Munnange wegendereze kano katego k'ennyini
okukujja mu kisa kya Kristo olyoke ozikirire.
----------------------------------------
ESSUULLA V
AKAGERO AKATUUKIRA OBULUNGI KU BULAMU
Olunaku lwakya bulungi mu April(Apuli) lwali lwa kasana
akawoomeerevu era nga n'oluwewo luguumirira olwo nno ne
zireeta omusumba Smith omupolotestanta mu motoka ye empya
eyekika kya mercury ng'ayolekera ekisaawe kya Golf era mu
kapyata muno yalimu ne biraza Brown omukulu w'abadinkoni era
olukiiko lw'ekkanisa lwali lubindabinda mu ssaawa ssatu zokka
eziddirira.
olukiiko lw'ekkanisa luno lwali lugenda kubeera lukulu nnyo
kubanga ezimu ku nsonga (1) Okunnoonya n'okutema empenda
z'ensimbi okwongera ku kizimbe ky'ekkanisa yaabwe egaziyire
ddala (2) Okuteesa ku nneeyisa y'omudinkoni munnaabwe omulala.
Kubanga omudinkoni ono yali afunye omuze oba yali awaganyadde
nga takyaweereza nsimbi ze ez'ekituundu ky'ekkumi ku
bulabirizi waggulu mu bakamaabe, nti nga ye ezize aziwa maka
gaba kateeyamba, omuli ebibiina nga salvation Army, kuno nno
kyanyiiza nnyo abakulu nti bo banaafuna batya emsaala
n'okubeerako obulungi ng'ate ono omudinkoni sente az'onoonera
mu bakateyamba, abakadde, wamu n'enfuuzi? ekigendererwa
ky'olukiiko luno kyali kya kumukangavuula asobole okudda
kumulamwa. Bannange laba setaani!! Omusumba Smith n'omudinkoni
ono kye baava basalawo okujja erudda eno okwegeyamu
ng'olukiiko terunnatandika.
Mu keetalo kano essimu
y'omusumba Smith yavuga, bwagikwata, eddoboozi lye yafuna
lyali lya mukazi eyawulikika ng'ali mu nnyiike era nga munafu
nnyo era nga kirabika talina na w'agenda kusula kubanga yali
atambula olugendo oluwanvu okuva e Charlotte okugenda mu
Baltimore ye ne kawalake ak'emyaka esatugye baali basuubira
okusula mu b'emikwano okutuusa lwe yandifunye akalimu kubamga
n'wkyokulya nga bawamma kiwamme.
Ekimotoka kye ekikadde
ekya Honda model 1981 kyali kifudde Lajenta era nga kijja
kumumalako $74.39 kyokka nga mu nsawo yali asigazizzamu $38.00
zokka. Kyava yeegayirira omusumba amufunireyo ku buyambi
alongoose lajenta ye asobole okweyongerayo.
Omusumba
yasooka n'agogola ku mimiro, n'atandika okunnyonnyola omukyala
ono nga bwe yali mu motoka ye n'omukulu w'abadinkoni era nga
baliko olukiiko olukulu ennyogye balaga, bwatyo n'amugamba nti
agezeeko okuddamu kukuba enkya waalwo, amale okuddayo
y'egeyeemu n'akakiiko k'ekkanisa balabe oba nga banaaba
balinawo ku busente bwonna obuyinza okuyamba mu nsonga
efaanana bwetyo.
Omukyala yagezaako okunnyonnyola
omusumba nga bwe yali yeetaaga akamotoka ke okuddabirizibwa
kwolwo lwennyini kubanga teyalina na nsimbi za kusasula mu
woteeri nga asiwa nsaano ku mazzi bwatyo mu bukoowu obungi era
mu nnaku ey'ekitalo yeebaza omusumba olwebiseera bye
namusiibula.
Mukama nga bwateerabira babe, ebusukka
kkubo waaliwo omwami nakyewa ow'ekibiina kya Salvation army
eyali addaabiriza endabirwamu eyali eyatise ku izimbe kyabwe
ekikadde mwe baakoleranga emirimu. Essimu ye yavuga era bwe
yagikwata eddoboozi ly'omukyala y'omu oli eyali asobeddwa
lyannyonnyola obuzibu n'obwetaavu bweyalimu. omwami ono
namusuubiza era n'emukakasa okumutwalako amangu ddala
n'akasente okuddaabiriza emotoka ye, era n'amugumya nti agenda
kumuleeta ye ne kawala ke eno ku Salvation Army bafune ku
k'okulya era n'okwetereeza balyoke beyongereyo n'olugendo
lwabwe.
Ku bantu bano bombi era ne ku kibiina
by'eddiini byombi ani yali ow'okufuna omukisa gwa yesu bwaliba
akomyewo okwawula endiga mu mbuzi? Era olowooza kibiina ki ku
bino ekiddiza mukama era kabona waffe asinga obukulu? ensi
eno!!!
----------------------------------------
FUMIINTIIRIZA KU BINO
Tulabye bulungi mu Bayibuli nti:
(a) Ebituundu by'ekkumi byasabibwanga mu
nkola yakireevi
(b) Eby'ekkumi byasabibwanga ku bibala
bya nnimiro
(c) Ebituundu by'ekkumi byakozesebwanga
kujagalaza mukama mpozzi n'okuyamba abanaku abatalina wamu
n'abaleevi.
(d) Saddaaka ya Yesus ng'emaze okuweebwanga
amateeka ganno ag'emikolo gasazibwamu nga mwemuli nokukomola
wamu n'ebitundu by'ekkumi.
(F) Paulo wamu n'abatume
bonna ne Yesu mukama waffe baatongoza birabo ebirabo ebiweebwa
mu kyeyagalire si nsimbi za ssalira mbu bitundu bya Kkumi.
(j) Tewaliiwo kyawandiikibwa kitulaga nti Paulo n'abatume
abalala baalya ku kitundu by'ekkumi
(h)Enkola
yobwakabona ne zisaddaaka ne byonna bye baawangayo abantu
byasangulwawo omusaayi gwa Yesu.
EBISEMBAYO
Ebbanga ttono emabega omusumba ne Kristo baali batambula
mu kifo ekyesudda abantu mu kitundu kyewammwe. Nga batudde mu
mulyango gw'ekifulukwa ekimu akalenzi alatewera mu myaka nga
musanvu, Amaaso gakakanuse kesowolayo ne kagasimbagana
n'omusumba wame ne Yesu. Obuviiri bwakaana kano obwezinze
saako enziina zaako eziddugala n'ebigatto ebikunjubuse mu
bigere bwako omutali sitokisi nga n'obwala bulingiriza mu
madirisa g'ebigatto.
Omusumba bwakuba ku Yesu eriiso
yamubuuza nti naye lwaki okkiriza n'okuleka embeera eno
okubeerawo? Lwaki akiriza n'okuleka embeera eno okubeerawo?
Lwaki tobeerako kyokola eri omuntu afaanana bwati?
Yesu
yakwata omusumba ku mukono era n'amutunula mu mmunye
n'amugamba nti ''Waliwo kye nnakola, nakutonda ggwe
nabakkiriza abali mu Kkanisa yo''
EKIBUUZO
EKISEMBAYO
Gwe n'ekkanisa yo munaagenda mu
maaso n'okubala nga mukula mu by'omwoyo nga mwesigama ku
bizimbe n'omuwendo gw'obungi bwabantu mukkanisa? okubala
ensimbi z'ebitundu by'ekumi mmeka ze mukunganyiza wamu
n'abasumba abafuna emisaala egisinga obusava?
oba ggwe n'ekkanisa yo munaatandika okuyamba
n'okubudaabuda omwana oyo omunaku? Jjukira nnyo nti mukama
waffe ye yayita omwana oyo omuto muganda we, muganda
w'omulokozi wo on'omukolera ki? Omwana oyo omuto on'omukola
otya? N'ekisembayo Kristo mukama waffe on'omukola otya?
----------------------------------------
CONTACT INFORMATION
FILLMER Hevener ed.D
224 Mohele Road
Farmville, Virginia 23901
(434)
392-6255
Web address:
www.guthriememorial.org
----------------------------------------
EBIKWATA KUMUWANDIISI
Fillmer Hevener. ed.D
muwandiisi Musumba ate Musomesa ku ddaala lya Polofeesa
eyawummula, akola okunoonyereeza, Mususbuzi, ate yaliko
omuminsane mu Uganda-Africa. Yasomera mu Yunivaasite ye
Virginia era asomesezza mu zi Yunivasite me kolegi okuva e
California, Maryland ne Virginia.
Yazaalibwa kumpi ne Staunton mu Virginia era yasooka kusomera
mu busomero bweyo mu Augusta County, era naye ggye yasomesaako
okumala akaseera. Musajja Mufumbo eri Celia Anchenbach
Hevener. Balina abaana babiri, Dennis(Georgia) ne Yolanda
Hevener Scheib(Maryland).
Mu 2001, Yatandikawo Guthrie
Memorial chapel e farmville, Virginia. Kuno kwogatta okubeera
nti alina obuweereza obwamanyi mu Africa, India ne mu
Phillipines, Chapel enoo eyamba ku bantu ku bantu mu mbeera za
bulijjo. Era ku bikwata ku Chapel eno n'emirimu gyayo
egyekkanisa endagiriro yaayo: www.guthriememorial.org. |